Amawulire

BannaKenya bakwatiddwa mu bubbi e Kampala

BannaKenya bakwatiddwa mu bubbi e Kampala

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abasajja 2 nga Bannansi ba Kenya bakwatiddwa poliisi mu Kampala, oluvannyuma lw’okusika ku mukazi ensawo ye ey’omu ngalo.

Abakwatiddwa kuliko Chrispin Kanyira ne Peter Kamau Wanja.

Bano baakwatiddwa wabula Poliisi eyayanguye okubataasa, ku bantu abaabadde besomye okubamiza omusu.

Oluvannyuma batwaliddwa ku CPS mu Kampala, gyebakyakumirwa ngokunoonyereza bwe kugenda mu maaso.