Amawulire

Bannaddiini bavudeyo ku ddembe ly’abaana n’abakyala

Bannaddiini bavudeyo ku ddembe ly’abaana n’abakyala

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2019

No comments

Bya Moses Ndaye,Bannaddiini n’ebibiina by’obwanakyewa bagasse amaanyi okulwanyisa ebikolwa eby’okutulugunya abaana n’abakyala.

Ssabawandiisi w’ekibiina ekitaba enzikkiriza ki Uganda Joint Christian council Rev. Constantine Mbona-bingi agambye nti abakulembeze b’enzikkiriza balina okukwatagana okulaba nti ebikolwa ebityoboola eddembe lya baana bifuuka olufumo mu ggwanga lino.

Bino abyogedde batongoza kawefube atumiddwa creating one church united to end violence against children and women wali ku kanisa ya All Saints Nakasero.

Mbonabingi agamba nti engeri e kanisa gy’e kunganiramu abantu abangi kyangu okumanyisa abantu obulabe obuli mu muze guno