Amawulire

Bannaddiini bakuutidde bannauganda okulonda mu mirembe

Bannaddiini bakuutidde bannauganda okulonda mu mirembe

Ivan Ssenabulya

January 13th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga bannauganda bategekera okulonda okunabaawo olunaku olwenkya, ekibiina ekitaba enzikkiriza ekya Interreligious Council of Uganda, kikubiriza bannansi okwetaba mu kulonda kunomu bungi basobole okulonda abakulembeze be bagala

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje, akuutidde abalonzi okwewala embeera yonna eyakavuyo kuba evaako abantu okufiirwa obulamu ne bintu byabwe

Mungeri yemu Mufti Mubajje alabudde abakuuma ddembe obutagezako kutiisatiisa balonzi nokubakambuwalira kuba kino kyakutiisa bangi okugenda okwetaba mu kulonda songa balina olukusa okulonda

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *