Amawulire

Bannabyabufuzi abategeka okwebalira obululu bawabuddwa

Bannabyabufuzi abategeka okwebalira obululu bawabuddwa

Ivan Ssenabulya

January 6th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko ké byókulonda kawadde abesimbyewo amagezi abatekateeka okutekawo ebifo mwe bagenda okubalira obululu bwabwe okugoberera amateeka

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu musomo ogutegekedwa ekibiina kya LAPSNET, okubabangula ku byókulonda mu kampala, akulira bannamateeka ba kakiiko ke, Abubaker Kayondo, akikatiriza nti akakiiko kokka ke kalian olukusa okulangirira ebyenkomeredde mu kalulu

Wabula nagamba nti abesimbyewo basobola okugatta obululu bwabwe naye ne bategeza bannauganda nti balinde ebya kakiiko ke byokulonda okumanya ekyenkomeredde

Mungeri yemu Kayondo atangaziza nti teri mukutu gw’amawulire gulina buyinza kutondawo kifo we babalira obululu, nagamba nti balina kuwa bivudde mu kalulu nga bwebabulira bannauganda na babibabuulidde okwewala okusasanya amawulire agobulimba