Amawulire

Bangirana bamulagidde addeyi ajira akola

Bangirana bamulagidde addeyi ajira akola

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Dayirekita wa poliisi akulira ebye yinginiyalingi Godfrey Bangirana bamulagidde addeyo ku mirimu ajira akola, okutuusa ensonga ze ndagaano ye lwezinakolwako.

Kinajjukirwa nti Ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth Ochola, ono yamulagira ave mu wofiisi kubanga endagaano ye yali yagwako nga 16 July, 2019.

Ochola yalagira nti ave mu wofiisi nga bwebalowooza obanga banamwongera omulimu.

Okusinziira ku bbaluwa eyawandikibwa omuwandiisi owenkalakalira mu ministry yensonga zomunda mu gwanga Benon Mutambi, nga 22 July, 2019 okusaba kwa Bangirana okumwongera emyaka emiralala 2 baakufuna naye essaawa yonna baakusalawo.

Ono era agambye nti basazeewo ajir akola okutuusa ekyenkomeredde lwekinasalibwawo.

Bangirana ono wabula kigambibw anti aliko ensimbi obuwumbi 100 zeyabulanaknya ezaali ezokuzimba poliisi ye Natete nobuwumbi 10 z’eyakozesa okudabiriza ennyonyi ya poliisi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *