Amawulire

Banamateeka baakutondawo ekiffo ekyenjawulo okwebangula

Banamateeka baakutondawo ekiffo ekyenjawulo okwebangula

Ivan Ssenabulya

December 14th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses

Ekibiina ekitaba banamateeka ekya Uganda law society kitegeezeza nga bwekigenda okutondawo ekifo ekyenjawulo mwebagenda okubangulira banamateeka abakyali abato bafuune obumanyirivu obwetagisa

Bino bituukidwako banamateeka bwebabade batongoza omulimo gwokuzimba ekizimbe kya myaliro musanvu kyebatuumye lawyers building nga kino kyakumalawo obuwumbi 17.

President w’ekibiina kino Simon Kinobe  agamba nti ekifo omugenda okutendekerwa banamateeka bano kigenda kubeera ku kizimbe ekino kyebagenda okutandika

Ono agamba nti singa banamateeka bano babangulwa mungeri egwana , ekizibu ky’ebbula ly’emirimo kyakukendeera.