Amawulire

Banamagye mu Sudan babawadde ennaku 15 zokka

Banamagye mu Sudan babawadde ennaku 15 zokka

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2019

No comments

Bya Musasi waffe

Akakiiko akatabaganya n’emirebe mu mukago gwa African Union aka Peace Security Council kawadde gavumenti yabanmagye mu gwanga lya Sudan ennaku 15 zokka, okuzza obuyinza mu mikono gyabantu.

Kati bano balabudde nti bwebatakiole bolekedde okugobwa okuva mu muka guno.

Ensisinkano gyebabaddemu ku kitebbe kya AU mu kibuga Addis Ababa mu gwanga lya Ethiopia, banamagye babadde bakulembeddwamu, General Galaledin Alsheikh

Mu kiwandiiko ekifulumye oluvanyuma, abakulu bagambye nti gavumenti yamagye ekonatanira ddala nebyo ebyalambikibwa mu ndagaano.

Wabula banamagye basabye gavumenti ya Ethiopia, okwongera okuwagira egwnaga lya Sudan.

Kati mungeri yeemu enensisnkano eno yetabiddwamu ssbaminista wa Ethiopia Abiy Ahmed.

Ono era afuuse omukulembeze we gwanga asoose okusisinkana, banamagye, abawamba aobuyinza mu Sudan.