Amawulire
Bana balumiziddwa mu kavuyo
Abantu 4 balumiziddwa mu fujjo erikoleddwa abawagizi ba NRM mu disitulikiti ye Lwengo nga betegekera akamyufu k’ekibiina akayongezeddwayo okutuusa olunaku lw’enkya.
Abalumiziddwa kuliko Mzee Nyansi owokukyalo Mijumi , Hamdan Muddu o’we Kayirira, Alex Kamya ow’e Lwensalon’omulala ategerekese nga Kafeero.
Kafeero nga y’omu ku bakulembeze ku kyalo Tayirira y’ajiddwa mu nyumbaye nebamukuba mizibu bweyabadde agenze okutawulula abalwanagana.
Ate ku kyalo Muwangi waliwo ekibinja ky’abavubuka abagenda basibira abatuuze mu mayumba gaabwe.
Era Omu ku bakulembera ekibiina kya NRM e Lwengo Umar Ssemwezi ategezezza nga efujjo bweritetagisa era n’asaba bonna okukkakana.