Amawulire

Bamusse mu ngeri etategerekeka

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Entiisa ebutikidde abatuuse bokukyalo Lugusuulu mu disitulikiti ye sembabule oluvanyuma lw’okugwa ku munaabwe nga akubiddwa mizibu era afudde bamutwala mu ddwaliro.

 

 

Fred Sunni omutuuze ku kyalo  Kyabi mu disitulikiti ye sembabule y’asangiddwa nga ali bubi era babadde bamutwala mu ddwaliro n’akutuka.

 

Manyina w’omugenzi  Mary Kirabo ategezezza nga omugenzi bweyakubiddwa abantu abatanategerekeka nebamulekako kiyiritira.

 

Agamba mwanyina abadde akola obulimulimu ku kyalo nga era abaamusse bamukubye ava ku kyalo ekiriranyewo ekya Kyamenya gyeyabadde agenze okupakasa.

 

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizz ettemu lino n’ategeeza nga bwebakyanonyereza okuzuula abawutudde omugenzi kutuuka kumutta.