Amawulire

Bamugaanye okweyimirirwa

Ali Mivule

April 23rd, 2013

No comments

soldier killer

Kkooti y’amaggye etudde ku gombolola e Bombo egobye okusaba kw’okweyimirirwa okukoledddwa munaggye Private Patrick Okot.

Bannamateeka be nga bakulembeddwaamu Capt Nasser Dravo enkya ya leero bakedde kusaba mu bigambo nti omuvunaanibwa ayimbulwe kubanga ddembe lye.

Wabula ba memba ba kooti y’amaggye nga bakulembeddwaamu Brig Fred Tolit bagobye okusaba kuno nga bagamba nti omusango ogumuvunaanibwa gwannaggomola.

Tolit era asabye abasaba okweyimirirwa okukussa mu buwandiike .

Private Patrick Okot avunaanibwa kutta abantu 10 beeyasasirira amasasi mu bbaala.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *