Amawulire

Bamufuna mpola emitwalo 15 bandiremwa okufuna ensimbi zómuggalo

Bamufuna mpola emitwalo 15 bandiremwa okufuna ensimbi zómuggalo

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Gavumenti egaanye amaanya ga bantu 150000 ababadde bayingiziddwa mu ntekateeka ezokufuna ensimbi zomuggalo.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku Media Center, mu kampala minisita owekikula kya bantu, Betty Amongi agambye nti ku bantu emitwalo 37 mu 7201 abaawandiisibwa okufuna ensimbi zómuggalo, abantu abasoba mu mitwalo 15 basaziddwamu olwensonga ezenjawulo.

Abamu bagaaniddwa olwenamba zamasimu gabwe obutagwatagana na bibogerako ku ndaga muntu, abalala enamba zabwe ezamasimu tezibadde mpandiise ku mobile money, ate endala nga tezili ku network.

Amongi ategezeza nga enkalala za bano bwezigenda okudizibwa ba town clerk bazekenenye oba ensimbi zabwe bakuzifunira mu banka.

Mungeri yemu agambye nti bakwongezayo entekateeka eyokugaba ensimbi ebadde efundikirwa olunaku lwenkya olwensonga nti enkalala za balina okufuna ensimbi ezimu tezinava mu bitundu byabwe

Amongi ategezezza ngabantu emitwalo 14 mu 3,600 bwebamaze okufuna ssente zaabwe emitwalo 10 ezomuggalo.

gavumenti yakasasanya obuwumbi 14 nobukadde 700 ku ssente obuwmbi 54 n’obukadde 700 ezabaweebwa.