Amawulire

Bamalaaya e Mukono beemulugunyiza ku bakuuma ddembe

Bamalaaya e Mukono beemulugunyiza ku bakuuma ddembe

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Bannekolera gyange abalenga akaboozi mu disitulikiti ye Mukono bakukulumidde abakuuma ddembe kungeri gyebabayisaamu, wakati mu kutekesa mu nkola ebiragiro ku ssneyiga omukambwe.

Bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Ritah Kyomuhendo bawanjagidde abobuyinza okubataasa ku basirikale.

Bano bagamba nti babajja mu nkuubo webategera kuba kasitoma, ate nabo nebabakozesa ekiro kyonna nga tebabawadde wadde ennusu.

bano, bakolera ku luguudo lwe Jinja okumpi ne kkereziya ya St Paul, wabula ssentebbe waabwe agamba nti abasirikare bano era babakozesa kirindi.

Meeya wa munisipaali ye Mukono, Erisa Mukasa Nkoyoyo avumiridde ebikolwa bya poliisi wabula agambye nti bagenda kukwatagana ne poliisi okulongoosa mungeri gyebateeka mu nkola ebiragiro.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *