Amawulire

Balimwezo ayagala Gavt egyewo omuggalo

Balimwezo ayagala Gavt egyewo omuggalo

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Omubaka wa Nakawa East mu palamenti Ronald Balimwezo asabye gavumenti okulaba ngegemesa bannauganda bonna eggyewo omuggalo bannauganda bade mu bulamu bwabwe obwabulijjo.

Okwogera bino abadde atuusa obuyambi eri abantu abakosebwa embeera eyomuggalo mu kitundu kyakikira omubadde abagoba ba bodaboda, abataxi, abakadde, nábakulembeze bemizikiti

Ono agambye nti yadde nga abakulembeze bakakasa amaanya gaabo baalina okufuna obuyambi bwa gavt obwensimbi ezomuggalo, abalina okuzifuna mu kitundu kye bangi tebafuna

Agamba nti ensonga eno wakugilondoola ate agituuse ne mu palamenti.

Bbo abafunye obuyambi bwe mmere okuva eri omubaka wabwe baweze nti singa ennaku ezomuggalo zigwako nga tebafiiriddwako bakukolawo akatiisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *