Amawulire

Bakulawuna amalwaliro

Ali Mivule

October 2nd, 2013

No comments

Rukahana

Ababaka ba palamenti abakyala abali mu kisinde ky’ababaka abakyala ne ba minister ku semazinga wa Africa bakujaguza ameefuga g’eggwanga mu ngeri ya njawulo nnyo.

Bano bagenda kumala olunaku luno nga balambula waadi z’amalwaliro agatali gamu

Akulira ekisinde kino mu Ugandan Sylivia Namabidde agamba nti okutalaaga waadi zino bagenda kukutambuliza ku mulamwa gw’okukendeeza emizizoko egivaako abakyala okufiira mu sanya

Okulambula kuno kugenda kukulemberwaamu minister w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda nga kwakutandika nga mukaaga kufundikirwe nga 8 omwezi guno

Namabidde agamba nt kyebagaala kwekulaba nti abakyala bakolebwaako abazaalisa abakugu kko n’okufuna ebyo byonna ebyetaagisa.

Bano era bakukebera okulaba oba amalwaluro galimu enteekateeka z’ekizaala ggumba kko n’okunyweesa abakyala abali embuto eddagala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *