Amawulire

Bakansala e Mpigi beekandaze ne bafuluma olukiiko

Bakansala e Mpigi beekandaze ne bafuluma olukiiko

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2020

No comments

Bya Mbogo Sadat, Bakansala ba disitulikiti y’e Mpigi beekandaze nebava mu lutuula lwa kanso olubadde olw’okuyisa embalirira ya district ey’omwaka gw’ebyensimbi 2020/21 nga obuzibu buva ku nsako gyebagamba nti babanja nga ya myezi esatu emabega.

Nga bakulembeddwa Kansala Fred Ssekaayi ow’abavubuka, Edith Namubiru ow’abakadde ne Ben Ssozi owa Mpigi Town Council bagamba tebajja kuyisa mbalirira eno eya ssente obuwumbi 39,418,896,000 okutuusa nga nabo bakoleddwako.

Wabula bwetwogeddeko n’akulira ebyensimbi ku lukiiko lwa district Faizo Mpanga atubuulidde nti bakansala tebabanja nti ensonga eriwo yakubeera nga baweereddwa akadde katono okwekennenya ebiri mu mbalirira eno.