Amawulire

Bajjo ne Abitex Poliisi ebakute

Bajjo ne Abitex Poliisi ebakute

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi ekutte omutegesi w’ebivulu Andrew Mukasa aka Bajjo ne munne and Abbey Musinguzi aka Abitex olw’okutegeka ekivulu mu bumenyi bwa mateeka ku kisaawe e Wankulukulu.

Bajjo ne Abitex babadde bategese ekivulu okusobola okusonderako ensimbi ez’okudukirira abasibe mu kintongole ky’amakkomera be bagamba nti bali mu mbeera mbi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano Patrick onyango ng’ayogerako ne ddembe fm ategezeeza nti ababiri bano mu kaseera kano bakuumibwa ku poliisi ya Jinja road

Ono agamba nti bagenda kugulwako omusango ogw’okukuma omuliro mu bantu oluvanyuma lw’okubatangira obutayingira kisaawe wabula bbo ne bagala bakozese eryaanyi nga bwebakunga ne banaabwe abalala.

Nga bano tebanakwatibwa Ddembe Fm yayogedeko n’ayogerera ekitongole ky’amakkomera Frank Baine n’atubuulira nti bajjo okutegeka ekivulu okuyamba abasibe ekyo tekikkirizibwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *