Amawulire

Bahati agamba Gavt yakusigala nga yewola okuyita kukigero

Bahati agamba Gavt yakusigala nga yewola okuyita kukigero

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti egamba nti yakusigala nga yewola okuyisa ku bigereko bye nsi yonna ebye bitundu 50% kuba erina okuteeka ensimbi mu byenguudo, amasomero na malwaliro.

Mu kiseera kino Uganda erina ebbanja lya busse  65.9  ekintu ekyelalikirize edda abagoberezi be byenfuna.

Bwabadde ayogerera mu lukungana olwokukubaganya ebirowoozo ku byenfuna bye ggwanga olutegekedwa ekibiina kyobwannakyewa ekya Advocates Coalition on Development and Environment, Julius Mukunda, akulira ekibiina kya CSBAG, awabudde gavt kukwewola okutatadde.

Wabula minisita omubeezi avunanyizibwa kukutekeratekera eggwanga David Bahati agambye nti ebbanja lya Uganda teritiisa nyo era gavt yakusigala nga yewola okusuka ku kigero kye ynsi yonna kuba erina ebyokukolako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *