Amawulire

Badereeva ba Baasi ezisala ensalo omuggalo gubakeese

Badereeva ba Baasi ezisala ensalo omuggalo gubakeese

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina omwegatira ba-dereeva abatambula engendo empavu ki National Union of Allied Workers, Drivers and Cyclist bekubidde enduulu eri minisitule eye byentambula nga bagala baasi ezitwala abasabaze ebusuka nsalo zikkirizibwe okudamu okkola.

Baasi zino omukulembeze weggwanga yaziyimiriza okukola bweyaggala ensalo mumwezi ogwokusatu omwaka oguwedde oluvanyuma lwokubalukawo kwe kirwadde kya Covid-19.

Wabula ssabawandiisi wékibiin kino Moses Baleke, agamba nti nga gavumenti bweyakkiriza entambula endala okudamu okukola wakati mu kugoberera ebiragiro mu kwewala okusasaana kwe kirwadde, abagoba ba baasi ezigenda mu mawanga agokumuliraano basanye bakkirizibwe okudamu okukola bakugondera ebiragiro.

Ono agamba nti baasi ezisoba mu 200 ezaali zitwala abasabaze mu mawanga nga Kenya, Tanzania, ne Rwanda tezikyakola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *