Amawulire

Babiri bafiridde mu kabenje e Namutumba

Babiri bafiridde mu kabenje e Namutumba

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abantu 2 bakakasiddwa nti bebafiridde mu kabenje akagudde mu district ye Namutumba amakya ga leero.

Akabenje kano kagudde ku kyalo Magada ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tiririnya.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi agambye nti akabenje kano, kabaddemu Taxi namba UBB 929/Q ebadde eva e Kampala okudda e Mbale, bwegudde neyevulungula.

Abafudde kuliko Hellen Kyelugoyi owemyaka 35 ngabadde mukozi mu Centinary bank e Mbale ne Edward Kapoi owemyaka 2.

Emirambo gitwaliddwa mu gwanika lye ddwaliro e Nakavule, ngekivuddeko akabenje poliisi egamba nti tekinaterekeka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *