Amawulire

Babiri bafiiridde mu kabenje

Babiri bafiiridde mu kabenje

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa, Poliisi ekakasizza ng’abantu 2 bwe bafiiriddewo n’abalala munaana ne batusibwa n’ebisago eby’amaanyi mu kabenje akagudde ku lwe Mityana enkya ya leero.

Akabenje kano kagudde Buyala ku luguudo lw’e Mityana Takisi ebadde eva e Mityana ng’edda e Kampala bwe yambalaganye ne lukululana ebadde eva Kampala ng’edda e Mityana

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kamapala ne mirirwano Luke Owoyesigire abagenzi abamenye nga Godfrey Ndawula n’omulala ataegerekeseeko elya Ssempala.

Abalala 8 badduziddwa mu ddwaliro e Mulago police abamenye nga Gerald Mulindwa, Oliva Natumba, Margret Nakanjako, Jackie Nakalema, Namutebi ne Samuel.

Kigambibwa nti akabenje kavudde ku mugoba wa mmotoka Toyota Hiace bwagezezaako okuyiisa Raum  nayingirira trailer number UAY 632J.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *