Amawulire

Ba ssedduvutto bagwana kusibwa mayisa

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo

Banakyewa mu district y’e Mpigi, aba Para social workers association bagala ebibonerezo ebiweebwa agasajja ga ssedduvutto n’abakwata abakazi bikyusibwe, abantu nga bano batandike kusibwa mayisa.

Ng’awayaamu naffe, omukwanaganya w’emirimu gy’ekibiina kino, Ssalongo Henry Paul Kinaalwa ategeezezza ngebikolwa bino bwebisusse e Mpigi nga kati abamu bagufudde mulimu, nga kyenkana buli week, ekibiina kyabwe kifuna emisango egyekusa ku kukabasanya abawala abato egiri mu 7 n’okusobya ku bakyala emisango 3- 5.

Bino webiggyidde, nga police y’e Buwama akawungeezi akayise yakutte neggalira abasajja babiri lwakunyumya kaboozi ka kikulu nabawala ab’emyaka emimpi ddala.

Akulira okubuuliriza ku buzzi bw’emisango ku police eno, Josephat Mbonigaba abakwate yategezeza nti kuliko omusomesa wa secondary e Mitala-Maria nga yafunisa omuyizi ow’emyaka 14 olubuto ne makanika w’ebyamasannyalaze mu kabuga k’e Buwama, nga ye yafunisa wa 15 olubuto ate naalwegaana.

Mu kaseera kano, bano bombi bakuumibwa mu kaduukulu ka police e Buwama, gyebanajjibwa bagasimbagane n’omulamuzi.