Amawulire

Ba sentebe bebyalo mu Kampala bagala musaala

Ba sentebe bebyalo mu Kampala bagala musaala

Ivan Ssenabulya

July 25th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Basentebe ba zi LC 1 ne 2 mu kampala n’emirilwano baddukidde wa minister wa Kampala Betty Kamya nga bagala gavumenti etandike okubasasula emisaala .

Bano nga bakulembedwamu sentebe owa LC2 Nakasero 4, Habib Rwamagana batutte ekiwandiiko kyabwe  eri minister nga bagala gavumenti ebadize ebitundu 25% ku nsimbi zebasolooza mu misolo basobole okudukanya emirimu obulungi

Rwamagana agamba nti wakiri buli sentebe asasulwe omusaala gwa bukadde 4 buli mwezi kuba bakola nyo nokusinga abantu abalala abaweebwa omudidi gw’ensimbi

Nga ebyo bikyali awo bano bagala baweebwe  n’endagamuntu okusinziira ku byalo byabwe kuba oluusi waliwo wezetagisiza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *