Amawulire
Ba-Mafia balwanyisa Emyooga naye tebajja kuwangula-Min Kasolo
Bya Prossy Kisakye,
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku Micro Finance Support Centre, Haruna Kasolo, agamba nti pilogulaamu ýEmyooga ékoze bulungi nyo yadde nga waliwo ba- Mafias abagirwanyisa.
Bino yabyogeredde ku mukolo nga abakulu Micro Finance Support Centre abagidukanya banja bye batuseko bukya yatandika.
Kasolo yategezeza nti ba- Mafia okuli bamane lenda ne zi-banka balwanyisa emyooga oluvanyuma lwokufiirwa ba kasitoma abaddukira mu myooga awatali bukwakulizo bungi.
Era agamba nti waliwo ne bannabyabufuzi abakola obutaweera okulaba nti pulogulaamu eno eggwa wabula akakasiza nga bwagenda okukola obutaweera okugiyimirizaawo.