Amawulire

Ba kansala beekubye engalike

Ali Mivule

July 26th, 2013

No comments

 

Councillors grilledKatemba akyagenda maaso mu kakiiko ka KCCA akawulira okwemulugunya kwa ba kansala abagala okuggya obwesige mu Lord Mayor Erias Lukwago.

Bannamateeka ba Lukwago bakunyizza ba kansala okuli Adam Kyazze, Bernard Luyiga nebibasobera.

Bw’abuuziddwa lwaki teyatwala byava mu mu nkiiko eze mabega Lord Mayor okuteekako omukono,omuwandiisi w’enkiiko,Rauben  Kamoga ategezezza nga bweyali alinda ekiragiro okuve eri eri akulira ekibuga Jeniffer Musisi.

Ye Luyiga yetemye engalike bwategeezezza nga bw’atamanyi byali mu kiwandiko ekyabagibwa okujja obwesige mu Lord Mayor era ye tawagira na kyakugya bwesige mu Lord Mayor.

Kati banamateeka obwanga babwolekezza eyakuliramu okubaga ekiwandiiko ekisaba Lord MAYOR agyibweemu obwesige  Bruhan Byaruhanga.

Nga bakansala bonna 17 baweddeyo , Lod Mayor wakuddamu okulabikako eri akakiiko ku mande nga yewozaako.