Amawulire

Ba kansala babakozesa

Ali Mivule

September 3rd, 2013

No comments

KCCA councillors

Ba kansala abagaala loodi meeya Erias Lukwago agyibweemu obwesige baliko ababakozesa

Abategeezezza bino beebannamateeka ba Erias Lukwago bwebabadde bafundikira okwewozaako kwaabwe mu kakiiko akanonyereza ku kiwandiiko kya ba kansala 17 abagaala agyibweemu obwesige.

Bano abakulembeddwaamu munnamateeka, Medard Ssegona bagambye nti akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi y’akozesa ba kansala bano era nga  beesanga bassizza emikono ku kiwandiiko.

Ono agambye nti ba kansala bangi mu kwewozaako balemererwa okunyonyola obuzibu webuli yadde nga beebavaayo nebemulugunya.

Sseggona asabye akakiiko okugoba okusaba kwa ba kansala bano era balabulwe ku kwogera kalebule