Amawulire

Atalina kibiina yawangudde e Nabingoola

Atalina kibiina yawangudde e Nabingoola

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2021

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Akulira akakiiko keby’okulonda mu district ye Mubende Kunihira Christine alangiridde Sam kwizera atalina kibiina mweyajira ku kifo kya ssentebe w’egombolola ye Nabingoola.

Ono awangudde owa NRM David Kigangali nobululu 1,878 ku bululu 1,366.

Kinajukirwa, okulonda mu gombolola eno kwayimirizibwa oluvanyuma lwa Samu Kwizera obutalabikira ku kakonge akalonderwako mu kulonda okwasooka.

Samu Kwizera alangiriddwa ku buwanguzi er amangu ddala nategeeza ngessira bwagenda okuliteeka mu kulwanyisa ekibba ttaka ekyeyongedde mu kitundu kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *