Amawulire

Asse munne lwa 2000/- zabadde amubanja

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2018

No comments

Bya Magembe Ssabiiti

Police e Mubende ekutte Ssemaka owemyaka 35 Kabagambe  Yeyiro omutuuze we Nabingoola lwakukira mune namukuba etafaali ku mutwe nafa olwe banja erye 2000 zabadde agaanye okumusasula/

Ettemu lino libadde ku kyalo Nkolabaseka mu gombolola ye Nabingoola ngatiddwa ye Ssemugabo Deo owemyaka 35 ngafudde atusibwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende.

Omuddumizi wa police e Mubende Ayoko Martine akakasizza okukwatibwa kwa Kabagambe Yeyiro nga kati agudwako gwakutta muntu ngakadde konna wakutwalibwa mu kooti.