Amawulire

Amurita azzeemu okuwenja akalulu

Amurita azzeemu okuwenja akalulu

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2020

No comments

Bya GEORGE EMURON

Akwatidde ekibiina kya FDC bendera mu kuvuganya kubwa pulezidenti Patrick Amuriat Oboi, asobodde okukuba olukungana mu bitundu Bukedea newankubadde tabadde nateekateeka yaayo leero, oluvanyuma lwa poliisi okumukasukira akakebe ka tiyagaasi mu motokaye mu disitulikiti ye Bugiri gyeyabadde ku lugendo olumutuusa e Bukedea.

Amuriat newankubadde tiimu emunonyeza akalulu yabadde erangiridde nga bwatagenda kusobola kunonya kalulu olunaku lwaleero atuuse e Kachumbala wayogeredde na bawagizi be nga poliisi tenamuwerekela ate kumutwala mu bitundu ebyesudde ekibuga kye Bukedea mugombolola ye Malera

Amuriat yetondedde abatuuze be bukedea ku byabaddewo olunaku lweggulo era nabasaba okuyimirira naye basobole okuleetawo ekyukakyuka

Bwavudde e Bukedea, Amuriat agenze mu bitundu bye Kidongole, Kanyum mu disitulikiti yé Kumi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *