Amawulire

Amuriat bamuddusizza mu ddwaliro

Amuriat bamuddusizza mu ddwaliro

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2020

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Akutte bendera ya FDC ku bukulembeze bwe gwanga Patrick Amuriat bamukubye mu maaso, ekigambibwa okubeera kamulali nebamuddusa mu ddwaliro.

Amuriat abadde agaba nti alina okubeera e Tororo ne Mbale okuwenja akalulu wabula, bateredde emisanvu e Muwayo, ku nsalo ya distulikiti ye Bugiri ne Busia.

Wano wabaddewo akanyolagano, Amuriat alyoke alumizibwe.

Kati oluvanyuma bamuvugidde mu kagaali okumutuusa mu ddwaliro lya First line medical centre e Bugiri gyafunira obujanjabi.

Wabula distulikiti ye Tororo gyabadde ayolekera yeemu kwezo kampeyini gyezaganiddwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *