Amawulire

Amuriat asuubiziza ababundabunda

Amuriat asuubiziza ababundabunda

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2020

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Akwatidde ekibiina kye byobufuzi ki forum for democratic change bendera mu kuvuganya ku ntebbe eyomukulembeze weggwanga, Patrick Amuriat asuubiza ababundabunda obuyambi singa alya Entebbe.

Amuriat bino abyogedde ali mu nkambi yé Bidi Bidi mu disitulikiti yé Yumbe nágamba nti obuyambi obugenda eri abadundabunda buva mu mawanga ge bweru kale nga bwanafuuka pulezidenti ensimbi zino zakusigala zijja era zakubatukako.

Ono era yeyamye okuzimba amasomero ge byemikono mu nkambi za babundabunda abaana baabwe babeeko kye basobola okwekolera.