Amawulire

Amuriat anenyeza palamenti ku butabanguko mu kulonda

Amuriat anenyeza palamenti ku butabanguko mu kulonda

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyavuganya kuntebbe eyomuk weggwanga era nga senkagale we kibiina kye byobufuzi ekya FDC Patrick Oboi Amuriat anenyeza palamenti olwobutabaako kyekola ku bantu abafiira mu kulonda okwakagwa mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo

Bino abyogedde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku ddembe lyobuntu okuwa ebintu nga bye yabilaba bitambula mu kulonda okwaliwo nga 14th January

Ono agamba nti palamenti okulemererwa okuyimiriza okulonda nayo avunanyizibwa kubyokuleetawo obutabanguko mu kulonda

Mungeri yemu Amuriat asabye palamenti esonge ku basirikale naba military abenyigira mu kutulugunya bannauganda mu biseera byokulonda

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *