Amawulire

Amefuga,Pulezidenti abakakasizza- Besigye ne Lukwago beetabye ku mikolo

Ali Mivule

October 9th, 2013

No comments

 m7 at celebrations

Pulezident Museveni azzeemu okukinogaanya nga bwewatali musaala gwa kwongeza basomesa

Bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’amefuga e Rukungiri, Pulezident agambye nti mu kadde kano gavumenti erina ebintu by’esimbyeeko essira omuli eby’obuzimbi n’amasanyalaze kko n’enguudo n’asaba abagaala owkongezebwa omusaala okubeera abagumikiriza.

Anyonyodde nti mu kaseera kano gavumenti  tesobola kukwataganya bintu bingi ng’ensonga y’emisaala yyo yakugira ng’erindamu

 Wabula  emikolo gino ekyenjawulo ekijibaddeko beebavuganya abakulembeddwaamu  Col Kiiza Besigye ne Loodimeeya Erias Lukwago okugenda okugyetabako kyokka nga tebagimazeeko.

Bano oluyimuse okugenda nga pulezident atandise okwogera, poliisi n’abakuuma ddembe nebabakwatirawo er a nga baddiziddwaayo mu maka ga Dr Besigye e Rukungiri

Besigye lukwago

Ku mukolo guno emidaali gigabiddwa eri abantu abaakola ennyo mu bwetwaaze bw’eggwanga era nga mu bagifunye kwekuli Supreme Mufti Zubair Kayongo, John Baptist Odama, Cyprian Kizito Lwanga n’abalala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *