Amawulire

Ambuleensi tezimala e Mukono

Ambuleensi tezimala e Mukono

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akulira eddwaliro lya Nakifuma Health Center 111 mu tawuni kanso ye Nakifuma-Naggaalama mu disitulikiti ye Mukono Mustafah Kayondo agamba nti mmotoka kika kya’gafa-e-Mulago tezimala okutambuza abantu okubajja mu byalo.

Mmotoka zino zezitekeddwa okutambuza abalwadde naddala aba ssenyiga omukambwe okubatuusa ku malwlairo amanene, wabula ntono mu disitulikiti yonna.

Kayondo agambye nti kibawaliriza abalwadde abali mu mbeera embi ate okutandika okupangisa takisi waddenga zaganibwa ku kkubo.

Akulira ebyobulamu disitulikiti ye Mukon, Dr Stephen Mulindwa agambye nti obwetaavu webuli obwamanayi.

Wabula agambye nti beyambisa ku ambulance zeddwaliro lya St Francis e Naggalama.

Mungeri yeemu, amyuka akulira eddwaliiro lya gavumenti erya Nakifuma Health Center 111 Musitafah Kayondo alaze okutya olwabalwadde ba mukenenya ababadde bafuna eddagala abakendedde.

Kino agambye nti kibaddewo okuva egwanga lweryazeeyo mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe, entambula yabantu nesalibwako.