Amawulire

Ambasada wa South Africa avumiridde ebyakoledwa ku bagwira

Ambasada wa South Africa avumiridde ebyakoledwa ku bagwira

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Omubaka wa South Africa mu Uganda Lekoa Solly Mollo avumiridde eky’okukakana ku bagwira ne bakolebwa efujjo ekyavirideko abantu abasoba mu 10 okuttibwa.

Kino kidiridde aba-south Africa okukakana ku bagwira bonna abali mu ggwanga ne batandika okubatta nga babalanga okubatwalako emirimu munsi yaabwe bbo ne basigala nga tebakola.

Kino kyavirideko abadugavu mu mawanga nga Nigeria ne Zambia nabo okutabukira aba-south Africa era nebagala kampuni zaabwe.

Mollo agamba nti wakati mu mbeera yobutabanguko n’abamenyi b’amateeka bayambisiza akakisa kano okunyaga ebintu bya bantu.

Ayongeddeko nti obutabanguko buno bukoseza ebyenfuna bya South Africa businesses in the country.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *