Amawulire

Amayumba gab’ajaasi emitwalo 3 gaakuzimbibwa

Amayumba gab’ajaasi emitwalo 3 gaakuzimbibwa

Ivan Ssenabulya

June 11th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Gavumenti egenda kutandika ku mulimu gwokuzimba amayumba gabajaasi emitwalo 3 mu mwaka gwebyensimbi ogujja okulongoosa embeera yabakuuma ddembe bano gyebawangaliiramu.

Bino byajidde mu mbalirirra ye’gwanga eyomwaka gwebyensimbi ogujja 2021/22 esomeddwa omubaka Amos Lugoloobi, eyalondeddwa ku kifo kya minisita omubeei owebyensimbi.

Agambye nti gavumenti era egenda kulongoosa nebikozesebwa byabajaasi, atenga ne’ddwaliro lyamagye erikyazimbibwa, Military Referral Hospital e Mbuya, lyakujibwako engalo.

Mu biralala ebiri mu ntekateeka, bagenda kuzimba military museum, oba ediyizo.

Amagye era galina ne polojekiti ya camera ku nguudo gyebatuumye Safe City CCTV project.

Mu mbalirirra eyasomeddwa ebyokwerinda byawereddwa obwesedde 6 n’obuwumbi 900.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *