Amawulire

Amawanga gakirimegga gasabiddwa okulaba nti eddagala lya Covid lituuka wonna

Amawanga gakirimegga gasabiddwa okulaba nti eddagala lya Covid lituuka wonna

Ivan Ssenabulya

February 20th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Bannaminisita abavunanyizibwa ku by’amateeka mu mukago gwa Commonwealth basabye wabeewo okukwatira awamu okulaba nti eddagala erigema ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lituuka ku buli muntu

Bino byatukidwako mu lukungana lwe babademu okuyita ku mutimbgano okukubaganya ebirowoozo ku butya ekirwadde kya ssenyiga omukambwe gye kyakosamu enfuga eya mateeka, obwenkanya ne ngeri gye kyakugiramu abantu okutuusibwako enzijanjaba ennungi

Mu kugulawo olukiiko luno ssabawandiisi wómukago gwa Commonwealth Patricia Scotland yalaze obwenyamivu okulaba nti amawanga agaliko mu bufuzi bwa bungereza mangi teganafuna ddagala ligema kirwadde kino

Wano wasabidde wabeewo okukolagana obulungi eri amawanga ge bweru okulaba nti teri ggwanga lisigalira mabega.

Ate ye Ali Sabry, Minisita wa Sri Lanka avunanyizibwa kunsonga ze byamateeka eyakubiriza olukiiko luno yewunya okulaba nti ensi ezaaliko amatwale ga bungereza zakafuna abalwadde ba covid abasoba mu bukadde 19 ate abalusudemu akaba bali eyo mu 370,000.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *