Amawulire

Amateeka ku baasi ezigenda e Kenya

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

kenya attacaks

Abavuga baasi ezigenda e Kenya bassiddwaako amateeka amakakali.

Kiddiridde obulumbaganyi bwakoleddwa ku Kenya mu kibuga ekikulu Nairobi abantu 4 bamale bafe.

Akulira ekibiina kya ba dereeva ba baasi, David Bahati agamba nti balagiddwa okwekebejja enyo emigugu n’abantu benyini okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna

Wabula amateeka gano gagenze okujja nga ne kkampuni zino zeekozeemu dda omulimu

Ng’awaamu ne Dembe FM, akulira eby’okwerinda Hassan Wasswa agambye nabo benyini bakosebwa ssinga wabaawo obulumbaganyi nga y’ensonga lwaki nabo beerinze

Poliisi essizaawo akakiiko akagenda okukola ku by’okwerinda mu bifo by’olukale

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga agamba nti akakiiko kano kagenda kutalaaga ebifo byonna ebikyakalirwaamu n’ebyo ebibaamu abantu abantu okulaba nti buli kimu kitambula bulungi.