Amawulire

Amataba tegannasalako

Ali Mivule

May 6th, 2013

No comments

floods in Kasese

Abantu abakunukkiriza mu mutwalo omulamba beebakoseddwa amataba mu bitundu bye Kasese.

Minister akola ku bigwabitalaze, Musa Ecweru agamba nti bamaze okutuusa obuyambi ku bantu bano abassiddwa mu nkambi ku ssomero lya Kasese primary school.

Bbyo ebimotoka biwetiiiye bimaze okutuuka ku ddwaliro lye Kilembe okulijjamu ettaka elyajjira ku mazzi agabula kata okusuula eddwaliro.

Bbo abajaasi ba UPDF abali mu 300 bali mu kitundu kino okuyambako mu kutaasa abantu abakoseddwa amataba

Ecweru Wabula alina okutya nti abantu ablaala bandikosebwa olwenkuba etasalako.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *