Amawulire

Amasomero agazeemu getaaga okuyambibwa-UNATU

Amasomero agazeemu getaaga okuyambibwa-UNATU

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2020

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ekibiina omwegatira abasomesa mu ggwanga ki Uganda National Teachers Union kitangaziza ku byabadewo ku lunaku olusooka olwábayizi abali mu mwaka gwabwe ogusembayo nga bazze ku masomero

Amasomero agamu olunaku lwajjo gazeemu okukakalabya emirimu oluvanyuma lwokutukiriza ebiragiro ebyabasabwa mu kutangira ekirwadde kya covid-19

Ssabawandiisi wekibiina kino Filbert Baguma, atubuulidde nti olunaku lweggulo abayizi bangi balagiddwa okudda eka oluvanyuma lwokugenda ku masomero nga tebalina maski

Wano wasabidde abavunanyizibwa kunsonga eno bakwatizeko amasomero nga babawa ebyetaagisa byonna mu kulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.