Amawulire

Amasiro gasenvudde

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

KAsubi tombs

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda Masiro g’ekasubi bwegagenda okuteekebwako amataala okusobola okwetangira abantu ab’emitima emibi.

Katikiro okwongera bino abadde mu masiro e Kasubi ng’alambuza obuganda omulimu gw’okuzimba enyumba ya muzibu azaala mpanga.

Katikkiro agambye nti amataala agasoba mu 300 geegagenda okuteekebwa ku Masiro mu kunyweza eby’okwerinda.

Katikiro era alaze essanyu olw’emisinde omulimu gw’okusereka enyumba ya Muzibu azaalampanga gyegutambulako.