Amawulire

Amasasi Gatwaliddemu Ssalumanya

Amasasi Gatwaliddemu Ssalumanya

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Waliwo omuvubuka owemyaka 26, abadde yajja e Kampala okukola emyezi mitono emabega eyakubiddw amasasi batemu bwebalumbye emmotoka ya minisita webyenguudo Gen Edward Katumba Wamala.

Kati omulenzi eyalumiziddwa ategerekese nga ye Kibalama ngabadde akaola ku kaduuka ka battery akali ku mabbali kinnya nanmpindi nekifo obulumbganyi buno webwabadde.

Faizo Ssali, nannyini kaduuka, agambye nti babadde bakaggulawo okukola ku ssaawa 2 ez’okumakya, bagenze okuwulira ngamasasi gatandise okutokota okukira akatogo.

Agambye nti bayanguyeko okuggalawo ekifo kyabwe, naye babadde bali awo amasasai negakwata omukozi we.

Ono naye bamuddusizza mu ddwaliro lya Malcom hospital webamujje okumwongerayo mu ddwaliro eddene.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *