Amawulire

Amalwaliro gatandise okugoba abalwadde ba COVID-19

Amalwaliro gatandise okugoba abalwadde ba COVID-19

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Oluvanyuma lwekirwadde kya ssenyiga omukambwe okweyongera, amalwaliro mangi agobwannyini gatubidde nemiwendo gyabalwadde.

Kti amalwaliro agasinga gatandise okwegobako abalwadde naddala abali mu mbeera embi, tebakyalina bitanda.

Okusinziira ku baddukanya amalwaliro gobwannayini agenjawulo, abasawo bebalina batono nga nebifo byabwe tebimala okulabirira abalwadde abangi.

Akolanga akulira eddwaliro lya Medipal International Hospital, Dr Richard Kikundwa, agambye nti balina obusobozi okujanjaba abalwadde ba ssenyiga omukambwe 50 bokka era ebitamnda bibaweddko.

Embeera yeemu, teyawukanya neeri ku ddwaliro luya International Hospital Kampala, ngeno akulira ebyamwulire Peter Mulindwa agambye nti balina ebitanda 25 byokka byebayinza aokujanjabairako aba ssenyiga omukambwe.

Siraj Mbulambago, akulira eddwaliro lye Kibuli agambye nti abalwadde babasukiriddeko songa basobola kukola ku balwadde 15 bokka olunnaku.

Kati akulira eddwaliro lya TMR International Hospital e Naalya, Dr Daniel Taremwa agambye nti bakola ku balwadde 20 era bajudde tebetaaga bappya.