Amawulire

Amalwaliro 2 gasumuusiddwa e Mubende

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2021

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Amalwaliro okuli Butoloogo health centre 11 ne Butawata heath centre 11 mu disitulikiti ye Mubende, gasumusiddwa okudda ku mutendera gwa health centre 111 kisobozese abantu okufuna obujanjabi obumala.

Akulira ebyobulamu mu disitulikiti ye Mubende Dr Lubowa Ssemujju ategezezza ngabalwadde omuli ba nakabutuzi, nabalina akawuka ka mukenenya bwebabadde batambula engendo empanvu okufuna obujanjabi nga ku mulundi guno bujanjabi bubasembezeddwa.

Ababaka ba palamenti mu kitundu kino okuli Pascle Mbabazi owa Buweekula, Hope Grania Nakazibwe omubaka omukyala owa disitulikiti ne Lubega Bashiru Ssempa owa munisipaali ye Mubende banenyezza gavumenti olw’okuzimba amalwaliro gano kyoka nemutatekebwamu bikozesebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *