Amawulire

Amaka agasoba mu 100 e kayunga golekedde okusengulwa

Amaka agasoba mu 100 e kayunga golekedde okusengulwa

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2019

No comments

Bya prossy Kisakye, Abatuuze abasoba mu 100 e Nkoko mu gombolola y’e Kasawo ekisangibwa mu disitulikiti y’e Kayunga emitima gibali ku mitwe, oluvanyuma lw’okufuna okutiisibwatiisibwa okugobwa ku ttaka kwe bawangalidde emyaka n’ebisiibo.

Abaana ba Lukwago abagambibwa okuba nti jjaajaabwe yeyatunda ettaka lino babyeganye nti tebabimanyiko.

Wabula bbo abatuuze ababadde abaawu baweze nti sibakwabulira ttaka kwe bamaze emyaka.

Ye sentebe wegombolola ye Kasawo Mohammed Kafumbe agumiza abatuuze nti teri muntu yenna agenda kubasengula nga tagoberedde nti mateeka.