Amawulire

Amaggye gesunze abatujju

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Katumba wamala

Amaggye g’eggwanga gategeezezza nga bwegali obwerinde okwanganga abatujju.

Amaggye ge gwanga Gen Katumba agamba nti bakunyweeza ebyokwerinda ku nsalo zonna kyokka ng’asabye abantu okutandika olutalo luno nga bakolagana n’abakuuma dembe.

Katumba agamba nti baliko abakugu beebawerezza okuyambako mu kunonyereza yadde tebawerezza bajaasi

Mu ngeri yeemu Gen Katumba Wamala  alabudde abantu abalina ekigendererwa ky’okutataaganya emirembe.

Katumba okwogera bino kiddiridde ebiyitingana nti munnamagye David Ssejusa yatonzeewo akabinja akamanyiddwa nga Free Uganda

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe ky’amaggye e Mbuya ,Katumba agambye nti amaggye tegalina budde bwa kumala ku  Sejusa .

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *