Amawulire

Alipoota okulwawo okufuma kizingamiza omulimo gwokudamu okuzimba Ivory Tower e Makerere
Bya Damali Mukhaye,
Omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Makerere Prof Barnabas Nawangwe ategezezza nti okulwawo kwa alipooota ya poliisi,ku muliro ogwakwata ekizimbe kya Ivory Tower, kyekirwisizaawo emirimu gyokuzimba okuzaawo ekizmbe kino.
Nabbambula womuliro yakwata ekizimbe kino ekisnga obukadde ku ttendekero, mu mwezi gwe 10, era gwasanyawo ebintu ebiwerako.
Wabula nokutuuka olwaleero alipoota tefulumanga.
Okusinziira ku Prof Nawangwe, nokusonda ensimbi ezokuvujirirra emirimu gyokuzaawo ekizimbe tekuyinza kugenda mu maaso.
Agambye nti babadde babakumira mu bisubizo nti alipoota enatera okuggwa, wabulanga ebbanga ligenderedde nga tewali kivaayo.