Amawulire

Alina amawulire ku Sheikh Ubaida bakuweebwa ekirabo kya bukadde 20

Alina amawulire ku Sheikh Ubaida bakuweebwa ekirabo kya bukadde 20

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ebitongole ebyobyokwerinda birinyisiza ensimbi zebeyamye okuwa omuntu yenna alina amawulire ku mayitire ga Sheikh Ubaida Badir Din Bukenya eyetaagibwa poliisi ku bigambibwa nti ye mutwe omukulu mu batemu abali Bagala okutta Gen.Katumba Wamala.

Omuntu alina amawulire kuwa sheikh Ubaida gyali poliisi yakumuwa obukadde bwensimbi 20 okudda ku 5 bwebasoose okuteekawo.

Mu kiwandiiko ekifulumizidwa poliisi akawungeezi ka leero Sheikh Abu Ubaida Badir Din Bukenya, era aliko obudukulu bwadukanya mu bumenyi bwa mateeka mu ggwanga omutulugunyizibwa abantu.

Ab’ebyokwerinda bagamba nti bataddewo obukadde 20 basobole okwanguyirwa mu kumuwenja.

Bino webigidde nga nga wakayita ssaawa busaawa nga nómuntu omulala agambibwa okwenyigira mu bulumbaganyi ku gen katumba ategerekeseko erya Kanaabe akwatibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *