Amawulire

Akubye bebi ekikonde ekimusse

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Enanga

Poliisi e  Bugiri ekutte omusajja ow’emyaka 32 akakkanye  ku mwanawe ow’emyezi 4 n’amukuba ebikonde n’amutta.

Ono yavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okulwanagana ne mukazi we.

Omusajja ono akoze ekikolwa kino ategerekese nga Francis Awori owe Rugaye e Bugiri.

Atwala okunonyereza ku misango gya poliisi, Francis Ambaire agambye omusajja ono abadde alwana ne mukyala we ng’asitudde omwana, era ekikonde kikutte ate Bebi.

Omusajja ono amaze okukwatibwa ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *