Amawulire

Akubiddwa amasanyalaze naafa

Akubiddwa amasanyalaze naafa

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Omukazi atemera mu gy’obukulu 46 mu disitulikiti eyé Sironko akubidwa amasanyalaze naafiirawo bwabadde mu nnimiro nga alima.

Omugenzi ategerekese nga Nabude Lovisa era nga kigambibwa nti yafudde oluvanyuma lwokulinya ku waya ya masanyalaze eyayisibwa mu ttaka.

Bino bibadde ku kyalo Kadodoyi mugombolola ye  Buwalasi e Sironko.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Rogers Taitika akakasiza okufa kwomukyala ono nategeeza nti bakutte Swaibu Wabuyi agambibwa okubba amasanyalaze nakukusa waya muttaka