Amawulire

Akina Mama wa Afrika bawakanyizza ebbago erya Sexual Offences

Akina Mama wa Afrika bawakanyizza ebbago erya Sexual Offences

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Banakyewa abatakabanira eddembe lyabakyala, Akina Mama wa Afrika bawakanyizza ebbago erya Sexual Offences Bill 2019, era bagala lizibweyo mu palamenti.

Bano bagasse ku banakyewa abalala abalwanirirra eddembe lyobuntu okulga okwemulugunya kwabwe.

Mu kiwandiiko aba Akina Mama wa Africa kyebafulumizza bagambye nti newankubadde mulimu obuwayiro bwebawagira okugeza ku kusobya ku bakazi, okwegadanga okwekinyumu, okukusa abantu olwebikolwa ebyobukaba, naye gyebinagwera ngate tekiyambye.

Bagamba nti mu bbago muno mwajiddemu okuboola abantu olwekikula kyabawe, atenga ebbago lyalemereddwa nokunyonyola ku nsonga yokukiriziganya eri abagenda mu bikolwa byomukwano.

Kati basabye omukulemnbeze we’gwanga okuligendako empola, talitekako mukono naye alizeeyo literezebwe.

Ebbago lya Sexual Offence Bill lyasooka kubagibwa mu mwaka gwa 2000 nga lyaletebwa mubaka ssekinoomu, wabula lyakomyeo okukola ennongesereza.